Hosea 14

Okwenenya Kuleeta Omukisa

1 aMudde eri Mukama Katonda wammwe, ggwe Isirayiri.
Ebibi byammwe bye bibaleetedde okugwa.
2 bMudde eri Mukama
nga mwogera ebigambo bino nti,
“Tusonyiwe ebibi byaffe byonna,
otwanirize n’ekisa,
bwe tutyo tunaawaayo ebibala by’akamwa kaffe, ng’ebiweebwayo eby’ente ennume.
3 cObwasuli tebusobola kutulokola;
Tetujja kwebagala mbalaasi ez’omu ntalo.
Tetuliddayo kwogera nate nti, ‘Bakatonda baffe,’
nga twogera ku bintu bye twekoledde n’emikono gyaffe,
kubanga mu ggwe, bamulekwa mwe bajja okusaasirwa.”

4 dNdibalekesaayo empisa zaabwe embi,
ne mbaagala awatali kye mbasalidde kya kusasula.
Kubanga obusungu bwange butanudde okubavaako.
5 eNdifaanana ng’omusulo eri Isirayiri:
alimulisa ng’eddanga,
era alisimba emirandira ng’emivule gy’e Lebanooni.
6 fAmatabi ge amato galikula;
n’obulungi bwe buliba ng’omuzeyituuni,
n’akaloosa ke kaliba ng’akaloosa k’omuvule gw’e Lebanooni.
7 gAbantu balibeera nate wansi w’ekisiikirize kye,
era alibala ng’emmere ey’empeke.
Alimulisa ng’omuzabbibu,
era alyatiikirira nga wayini ow’e Lebanooni.
8 hGgwe Efulayimu mugabo ki gwe nnina mu bakatonda bo?
Ndimwanukula ne mulabirira.
Nninga omuberosi omugimu, era n’ebibala byo biva mu nze.

9 iAbalina amagezi bategeera ensonga zino,
era abakabakaba balibimanya.
Amakuba ga Mukama matuufu,
n’abatuukirivu bagatambuliramu,
naye abajeemu bageesittaliramu.
Copyright information for LugEEEE